Lwaki Tolina Kusubwa Omwoleso Gagadde 2022

SafeBoda
2 min readAug 19, 2022

--

Kati tekyali kulanga kulala, kuba ‘Omwoleso Gagadde’ gutandise, nga gwakutambula okuva nga 19 okutuusa nga 28 omwezi gwa Muwakanya mu Lubiri e Mengo. Omwoleso guno, ogutegekebwa buli mwaka n’ekigendererwa eky’okumanyisa ensi ebyo Obwakabaka bye bulina abantu babyeyunire ate n’Obwakabaka bufunemu.

Entekateka ziwedde ng’era ekisaawe kiyooyooteddwa, amakubo gaakoleddwako, eby’okwerinda binywezeddwa; n’eby’okuyiga bingi omuli; eby’Obuwangwa n’Ennono.

Waliwo ensonga nkumu lwaki tolina kusubwa, kuba omwoleso gw’omwaka guno gwa njawulo nyo, era y’emu ku nsonga lwaki naffe, nga SafeBoda, tugwetabyemu n’obuwagizi eri emikolo gyonna.

Okumanya tosaanye kusubwa, kuluno Ssaabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri Obuganda mu mwoleso nga 26 ng’ela entegeka zonna n’ebikujjuko ziwedde okumwaniliza.

Eby’okuyiga bingi eri abagenyi, anti omwoleso gwa Buganda gussa nnyo essira ku by’obulambuzi n’obulimi olw’ensonga nti eggwanga liyimiriddewo ku bya bulimi so ng’ate eby’obulambuzi abantu bwe batabimanya tebasobola kubyeyunira ate nga bilimu ensimbi.

Okwo kwossa eby’essanyu ebitegekeddwa mu nkumu. Wali olinye ku nyonnyi? Tosubwa entambula y’enyonyi ku nsimbi ensamusamu — emitwalo 35 gyokka! Osobola okutegeeza abategesi nti oyagala okulinya ku nyonyi mu mwoleso ku namba 0740500400.

Sso no, n’aba Afrigo Band abakakasiza nti bagenda kutukuba omuziki. Okuyingira kwa enkumi 5 eli abakulu, n’enkumi 3 eli abato. Eby’okuzanya webili bwoba ojja n’abana naddala abawumuze.

Naffe nga SafeBoda, tulina entambula ey’ebbeyi ensamusamu okutwala mu mwoleso, awamu n’okuzza ewaka awatali kwelalikilila. Tulina n’omuddaala mu lubili ogulina ebintu eby’enjawulo byetuleese okwolesa eli abantu ba Ssabasajja.

Tukulinze! Maaso Moogi Awangaale!

--

--

SafeBoda
SafeBoda

Written by SafeBoda

Uganda’s super app, on a mission to empower communities to thrive. 👉🏾Order Rides. 👉🏾Make Payments. 👉🏾Send Packages.

No responses yet